2 Samuel 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwokusatu omusajja n'ajja ng'ava mu lusiisira lwa Sawulo; engoye ze zaali nga ziyuliseyulise n'enfuufu ng'ejjudde mu mutwe. Bwe yajja ewa Dawudi, n'agwa wansi ku ttaka n'amuvunnamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu (3), omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe, awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokusatu omusajja n'atuuka, ng'ava mu lusiisira lwa Sawulo. Olw'okulaga obunakuwavu, yali ayuzizza ebyambalo bye era nga yeesiize ettaka mu mutwe. N'agenda eri Dawudi, n'avuunama ng'amussaamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, laba, omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza.