2 Samuel 1:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaale gwa Yonatani tegwaddanga nga tekuli musaayi gw'abattiddwa, amasavu g'abazira, n'ekitala kya Sawulo tekyakomerangawo awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu, olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga, n’amasavu g’ab’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga mabega Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akasaale ka Yonataani n'ekitala kya Sawulo byali tebitya wa maanyi, nga tebitaliza mulabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga nnyuma Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.