2 Samuel 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo ne Yonatani baayagalibwa, baali basanyusa mu bulamu bwabwe, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, ba maanyi okusinga empologoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo ne Yonasaani baali balungi nga basanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Sawulo ne Yonataani abaayagalana mu bulamu, tebaayawukana mu kufa. Banguwa okusinga empungu, ba maanyi okukira empologoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo ne Yonasaani baali balungi era ba kusanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma.