2 Samuel 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Onnumye, muganda wange Yonatani, wali mwagalwa wange nnyo; okwagala kwe wanjagalamu kwali kwa kitalo, kwasinga n'okwagala okw'abakazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani, kubanga wali mukwano gwange ddala. Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo, nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani; Wansanyusanga nnyo nnyini; Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nkukaabira Yonataani muganda wange! Nga twali baamukwano nnyo. Okwagala kwe wanjagalamu kwali kwa kitalo nga kusinga okw'abakazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani: Wansanyusanga nnyo nnyini: Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi.