2 Samuel 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amugamba nti: “Kiki ekifuddeyo? Mbuulira.” N'addamu nti: “Abantu olutalo baludduse; bangi mu bantu battiddwa, bafudde, ne Sawulo ne Yonatani mutabani we bafudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'amugamba nti, “Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira.” N'addamu nti, “Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'amugamba nti: “Mbuulira bwe byabadde.” N'amugamba nti: “Eggye lyaffe lidduse mu lutalo era abantu baffe bangi battiddwa. Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'amugamba nti Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira. N'addamu nti Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde nabo.