2 Samuel 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'abuuza omuvubuka eyali amubuulira nti: “Otegeeredde ku ki nga Sawulo ne mutabani we Yonatani bafudde?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti: “Omanyi otya nga Sawulo ne mutabani we Yonataani bafudde?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Omanyira ku ki nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?