2 Samuel 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuvubuka eyali amubuulira n'agamba nti: “Nasangiddwa ndi eyo ku lusozi Gilubowa; Sawulo yali yeesigaamirizza ku ffumu lye, ebigaali n'abeebagazi nga bagenda bamusemberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulenzi n'amuddamu nti, “Nnabadde ku lusozi Girubowa ne ndaba Sawulo nga agudde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi nga bamufumbiikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulenzi n'amuddamu nti: “Nabadde ku lusozi Gilubowa ne ndaba Sawulo nga yeewaniridde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi, nga bamufumbiikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulenzi eyamubuulira n'ayogera nti Bwe nnali ndi awo ku lusozi Girubowa, laba, Sawulo ne yeesigama ku ffumu lye; awo, laba, amagaali n'abeebagala embalaasi ne bamucocca.