2 Samuel 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yakyuka, n'andaba, n'ampita, ne mmwanukula nti: ‘Nzuuno.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita. Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita, ne mpitaba nti: ‘Wangi ssebo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yakebuka, n'andaba n'ampita. Ne nziramu nti Nze nzuuno.