2 Samuel 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aŋŋamba nti: ‘Yimirira kumpi nange onzite, kubanga obulumi bw'okufa bunkutte, naye ng'obulamu mu mubiri bukyalimu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga nfumitiddwa ebiwundu by'amaanyi sijja kuwona.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alyoka andagira nti: ‘Jjangu wano onzite! Ntuukiddwako ebisago bya maanyi, sijja kuwona.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga obubalagaze bunkutte; kubanga obulamu bwange bukyali bulamu mu nze.