2 Samuel 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba nti: “Abaaramu bwe banansinza amaanyi, ononziruukirira; n'Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, ddala nzija kukudduukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Abasuuli bwe banannema, ggwe on'ombeera; naawe abaana ba Amoni bwe banaakulema, nange najja ne nkuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi onojja n'onnyamba, naawe Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Abasuuli bwe banannema, kale ggwe onombeera: naye abaana ba Amoni bwe banaakulema, kale najja ne nkuyamba.