2 Samuel 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beera muzira; tulwane na buzira okutaasa abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe; Omukama anaakola ekisaanye mu maaso ge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw’asiima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ddamu amaanyi twerage masajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe; era Mukama akole nga bw'asiima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe n'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddamu amaanyi twerage obusajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole nga bw'asiima.