2 Samuel 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'eggye lye yali nalyo ne balumba okulwana n'Abaaramu, Abaaramu ne babadduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’abasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli; ne badduka mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abassiriya, Abasiriya ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli: ne badduka mu maaso ge.