2 Samuel 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abammoni bwe baalaba ng'Abaaramu badduse, nabo ne badduka Abisayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowabu n'aleka Abammoni, n'akomawo e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu n’alekeraawo okulwana n’Abamoni, n’addayo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abammoni bwe baalaba ng'Abassiriya badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku kulwanyisa Abammoni, n'agenda e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n' alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo n'ajja e Yerusaalemi.