2 Samuel 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abaaramu ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Baaramu abatabaazi b'oku bigaali lusanvu, n'abatabaazi baabwe ab'ebigere emitwalo ena. Yakuba Sobaki omuduumizi w'eggye lyabwe, n'afiira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi n’atta abasajja lusanvu ku bavuzi b’amagaali g’embalaasi, era n’emitwalo ena ku beebagala embalaasi, n’afumita ne Sobaki omuduumizi w’eggye lyabwe n’afiirawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu (700), n'abeebagala embalaasi emitwalo ena (40,000), n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasiriya ne badduka Abayisirayeli. Dawudi ne basajja be ne batta Abasiriya lusanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena abeebagala embalaasi, n'afumita Sobaki omuduumizi w'eggye lyabwe, n'afiira mu ddwaniro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu, n'abeebagala embalaasi obukumi buna, n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo.