2 Samuel 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka bonna abaali abaweereza ba Adadeezeri bwe baalaba nga bakubiddwa Yisirayeli, ne bateeseganya n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Abaaramu ne batya okuddayo okuyamba Abammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga n’obusuulu. Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka bonna abaaweerezanga Hadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne bakola endagaano ey'emirembe n'Abayisirayeli, ne bafuuka baweereza baabwe. Awo Abasiriya ne batya okuyamba Abammoni omulundi omulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)