2 Samuel 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “Nzija kugirira ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi nga kitaawe bwe yangirira ekisa.” Awo Dawudi n'atumayo abaweereza be bamutuusize okukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Naye abaweereza ba Dawudi bwe bajja mu nsi y'Abammoni,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’alowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi n’amutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olw’okufa kwa kitaawe. Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi ey’Abamoni,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayogera nti, “N'akola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankolera nange eby'ekisa.” Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba nti “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'amutumira abaweereza be okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka mu nsi y'Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Naakola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankola eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni.