2 Samuel 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abakungu b'Abammoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti: “Olowooza Dawudi akutumidde ab'okukukubagiza lwa kussaamu kitaawo kitiibwa, nandiki Dawudi abaweereza be abasindise gy'oli bekkaanye ekibuga, bakikette ate bakizikirize?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna n’okuketta ekibuga n’okukiwamba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abakulembeze b'omu Ammoni ne bagamba mukama waabwe Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira abaweereza bakukubagize, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Dawudi asindise bakessi bakette ekibuga era bakiwambe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya?