2 Samuel 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kanuni n'addira abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekitundu ky'ekirevu, n'engoye zaabwe n'azisalirako awo mu makkati ku butuuliro, n'abagoba bagende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kamuni n’akwata abasajja ba Dawudi n’abamwako ekitundu ky’ebirevu byabwe n’abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, n’abagoba baddeyo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku makugunyu gaabwe, n'alyoka abasindika baddeyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, buli omu n'amumwako ekirevu oludda olumu, n'abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu biwato byabwe, n'abasiibula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika.