2 Samuel 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe baakimubuulira, n'asindika ab'okubasisinkana; anti baali batoowaziddwa nnyo. Dawudi n'abalagira nti: “Musigale mu Yeriko, okutuusa ebirevu byammwe nga bimeze, awo mulyoke mukomeewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’atumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baakibuulira Dawudi, n'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja abo ne bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula, mulyoke mukomewo.