2 Samuel 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abammoni bwe baalaba nga bekyayisizza ewa Dawudi, ne bapangisa abatabaazi ab'ebigere Abaaramu: mu Beti-Rekobu ne Zoba baggyayo emitwalo ebiri, ewa kabaka Maaka baggyayo abasajja lukumi, ne mu basajja b'e Tovu omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga beebeekyayisizza Dawudi; ne batuma ne bapangisa Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi (1,000), n'abasajja ab'e Tobu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abammoni ne balaba nga beekyayisizza Dawudi. Kyebaava batumira Abasiriya ab'e Betirehobu n'e Zoba, okubagulirira babawe abaserikale emitwalo ebiri ab'ebigere, ne Kabaka Maaka aleete abasajja lukumi, n'ab'e Tobu baleete abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Dawudi ng'abatamiddwa, abaana ba Amoni ne batuma ne bagulirira Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere obukumi bubiri, ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi, n'abasajja ab'e Tobu abasajja kakumi mu enkumi bbiri.