2 Samuel 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abammoni ne bavaayo, ne batala okulwana ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga kyabwe. Bo Abaaramu abaava e Zoba, Rekobu, Tovu ne Maaka baasigala ku ttale bokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki w’ekibuga kyabwe, Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu, n’abasajja ab’e Tobu n’e Maaka bo ne babeera mu ttale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango; n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abammoni ne bafuluma ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu. Ate bo Abasiriya abaava e Zoba n'e Rehobu, n'abasajja abaava e Tobu n'aba Maaka, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango: n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale.