2 Samuel 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu bwe yalaba nga beetegese okumulwanyisa nga bafuluma mu maaso n'emabega, n'alonda mu bonna abatabaazi abalondobe mu Yisirayeli, n'abategeka okulumba Abaaramu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumutaayizza mu maaso n’emabega, n’alondamu abasajja abazira mu Isirayiri, n’abasindika batabaale Abasuuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'emabega we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'ennyuma we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli: