2 Samuel 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi kwe kugamba Wuriya nti: “Sigala wano n'olwa leero; enkya nzija kukusiibula oddeyo.” Wuriya n'asigala mu Yeruzaalemu ku olwo n'olwaddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Sigalawo olunaku olulala olabe obanga enkya siikusindike kuddayo.” Bwatyo Uliya n’asigalawo olunaku olwo n’olw’enkya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Uliya nti, “Beera wano n'olwa leero, enkya nkusindike oddeyo.” Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olwaddirira mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Yosa olwaleero enkya nja kukusindika oddeyo.” Wuriya n'abeera mu Yerusaalemu olunaku olwo n'olwaddirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Uliya nti Mala wano n'olwa leero, enkya nkusindike. Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olw'enkya mu Yerusaalemi.