2 Samuel 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amuyita ewuwe, n'alya n'anywa naye, n'amutamiiza. Wuriya bwe yafuluma akawungeezi, yeebaka ku kiwempe kye wamu n'abaweereza ba mukama we; mu nnyumba ye teyaserengetayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ayita Uliya alye naye ekyekiro, n’amutamiiza akawungeezi ak’olunaku olwo, Uliya n’agenda n’agalamira ku mukeeka gwe n’abaddu ba mukama we, n’ataddayo wuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'amuyita, n'aliira era n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza; n'ekiro ekyo Uliya n'ataddayo mu nnyumba ye, naye nasula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'amuyita n'alya era n'anywa naye, n'amutamiiza. Kyokka n'ekiro ekyo Wuriya ewuwe teyagendayo. Yasula ku kitanda kye wamu n'abaweereza ba mukama we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi bwe yamuyita n'alya n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza: awo akawungeezi n'afuluma okusula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we, naye n'ataserengeta mu nnyumba ye.