2 Samuel 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbaluwa yawandiikamu nti: “Wuriya mumuteeke mu maaso awali okulwana okwa maanyi, ate mwesege mumuleke yekka bamukube afe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awandiika mu bbaluwa nti, “Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi, mumwabulire, balyoke bamufumite afe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awandiika mu bbaluwa eyo bw'ati: “Teeka Wuriya ku mwanjo awali okulwana okw'amaanyi ennyo, omwabulire, bamufumite, afe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awandiika mu bbaluwa nti Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi; mumwabulire, balyoke bamufumite afe: