2 Samuel 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu bwe yali azinze ekibuga, n'assa Wuriya mu kifo we yali amanyi nti waliwo abasajja ab'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu bwe yali ng’ataayizza ekibuga, n’addira Uliya n’amuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe ab’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'ateeka Uliya mu kifo we yamanya nti we wali abalabe ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'ateeka Wuriya mu kifo we yamanya nti abalabe we basinga amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'awa Uliya ekifo we yamanya nga we wali abazira.