2 Samuel 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'ekibuga bwe baafuluma okulwanyisa Yowabu, abamu ne battibwa okuva mu ggye ne mu baweereza ba Dawudi; Wuriya Omukitti naye n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ab’ekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu; awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwanyisa Yowaabu. Ne batta abamu ku baweereza ba Dawudi, Wuriya Omuhiiti naye ne bamuttiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu: awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa.