2 Samuel 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu akawungeezi, Dawudi yasituka ku kitanda kye, n'atambulatambula ku bbalaza waggulu ku nnyumba ye. Bwe yali ku bbalaza waggulu n'alengera omukazi anaaba; omukazi yali mulungi nnyo mu ndabika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olumu, mu ssaawa ez’olweggulo, Dawudi n’agolokoka, n’atambulatambula ku kasolya ak’olubiri lwe. N’asinziira waggulu eyo n’alengera omukazi ng’anaaba, era omukyala yali mulungi omubalagavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka; era ng'asinziira ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu olwegguloggulo, kabaka Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye, n'atambulatambula waggulu ku nnyumba ye. Ng'ali eyo, n'alengera omukazi ng'anaaba. Omukazi yali mulungi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka: era ng'ayima ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira.