2 Samuel 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obusungu bwe bwanditumbuka; ayinza okukubuuza nti: ‘Lwaki mwasemberedde ekibuga okulwana? Mwabadde temumanyi nti balasa nga bayima ku bbugwe waggulu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alabika nga munyiivu, n’abuuza nti, ‘Lwaki mwasemberedde nnyo ekibuga nga mulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku Bbugwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo olunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti, ‘Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi n'ekibuga okulwana? Temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabaka n'asunguwala, n'akubuuza nti: ‘Lwaki mwasemberera nnyo ekibuga okulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku bisenge?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo alunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi: n'ekibuga okulwana? temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa: