2 Samuel 11:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yakuba Abimeleki mutabani wa Yerubbeseti? Si mukazi ye yamusuulako olubengo ng'ayima ku bbugwe waggulu, n'afiira e Tebezi? Lwaki mwasemberedde bbugwe?’ Ggwe onoomuddamu nti: ‘N'omuweereza wo Wuriya Omukitti yafudde.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe, n'afiira e Sebezi? Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe?’ Awo onoomuddamu nti, ‘N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani eyatta Abimeleki mutabani wa Yerubbesiti? Omukazi teyamusuulako olubengo ng'asinziira ku kisenge n'afiira e Tebezi? Lwaki mwasemberera okumpi n'ekisenge?’ Onoddamu nti: ‘N'omuweereza wo Wuriya Omuhiiti naye afudde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe n'afiira e Sebezi? kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe? awo onooyogera nti N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.