2 Samuel 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubaka n'agenda, n'ajja n'anyumiza Dawudi byonna Yowabu bye yali amulagidde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omubaka n’agenda n’ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma okwogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omubaka n'agenda n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubaka n'agenda. N'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omubaka n'agenda n'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.