2 Samuel 11:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba omubaka nti: “Kino ky'onoogamba Yowabu nti: ‘Ekyo tekikweraliikiriza, kubanga olumu ekitala kirya ono, olulala ne kirya oli; yongeramu amaanyi mu kulumba kw'olumbyemu ekibuga, okizikirize.’ Bw'otyo omugumye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba omubaka nti, “Ggamba Yowaabu nti, ‘Ekigambo ekyo kireme okukubuza emirembe, kubanga ekitala olumu kitta omu n’olulala ne kitta omulala. Munyiikirire okulumba ekibuga mukiwambe.’ Era Yowaabu mugambe agume omwoyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba omubaka nti, “Bw'oti bw'oba ogamba Yowaabu nti, Ekyo kireme kukuterebula, kubanga tewali ayinza kumanya oyo anaafiira mu lutalo. Kale nno weeyongere okulumba ekibuga n'amaanyi, okiwambe. Era naawe mugumye omwoyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba omubaka nti: “Bw'oti bw'oba ogamba Yowaabu nti: ‘Ekyo kireme kukuterebula, kubanga tewali ayinza kumanya oyo anaafiira mu lutalo. Kale nno weeyongere okulumba ekibuga n'amaanyi, okiwambe.’ Era naawe mugumye omwoyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba omubaka nti Bw'otyo bw'oba ogamba Yowaabu nti Ekigambo ekyo kireme okukunyiiza, kubanga ekitala kirya nga kyenkanya omuntu ne munne: weeyongere okunyweza olutalo lwo okulwana n'ekibuga okimenye: era omugumyanga omwoyo.