2 Samuel 11:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde obw'okukungubaga bwe bwaggwaako, Dawudi n'amutumya, n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'afuuka mukazi we, n'amuzaalira omwana mulenzi. Naye ekyo Dawudi kye yakola tekyasanyusa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukungubaga bwe kwaggwa, Dawudi n’amutumya, n’amuleeta mu nnyumba ye, n’afuuka mukyala we, n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Naye ekigambo ekyo Dawudi kye yakola ne kitasanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera eky'okukungubaga bwe kyaggwaako, Dawudi n'amutumya n'amuleeta mu nnyumba ye, n'aba mukazi we era n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera eky'okukungubaga bwe kyaggwaako, Dawudi n'amutumya n'amuleeta mu nnyumba ye, n'aba mukazi we era n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Kyokka ekintu ekyo Dawudi kye yakola, ne kinyiiza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okwabya olumbe, Dawudi n'atuma n'amuleeta ewuwe, n'aba mukazi we n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.