2 Samuel 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'atuma ababaka ne bamuleeta; omukazi n'ajja gy'ali, Dawudi ne yeebaka naye. Omukazi nno yali yaakamala okwetukuza oluvannyuma lw'obutaba mulongoofu. N'addayo ewaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’amutumya, n’ajja gy’ali, ne yeebaka naye. Yali mu kiseera eky’okwelongoosa obutali bulongoofu bwe. Oluvannyuma n’addayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'atuma ababaka ne bamuleeta neyeegatta naye; kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe; omukazi n'addayo mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'atuma ababaka bamunone, omukazi n'ajja gy'ali ne yeebaka naye. Omukazi yali yaakava mu nsonga z'abakyala eza buli mwezi. Awo omukazi n'addayo ewuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atuma ababaka n'amutwala; n'ayingira gy'ali n'asula naye; (kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe;) omukazi n'addayo mu nuyumba ye.