2 Samuel 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Wuriya n'afuluma mu lubiri lwa kabaka; ne bamugobereza akalabo akaava ewa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Uliya n’afuluma olubiri, kabaka n’amuweereza ekirabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere.” Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, kabaka n'amugobereza ekirabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba Wuriya nti: “Kale genda ewuwo, owummuleko.” Wuriya n'ava mu lubiri lwa kabaka. Kabaka n'amugobereza ekirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Uliya nti Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere. Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, ne wamugoberera omuwumbo (gw'emmere) oguvudde eri kabaka.