2 Samuel 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Wuriya yeebaka awo ku wankaaki w'olubiri lwa kabaka wamu n'abaweereza abalala aba mukama we; teyaserengeta mu nnyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Uliya n’ataserengeta wuwe, n’asula ku mulyango gw’olubiri n’abaddu ba mukama we, Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Uliya n'atagenda mu nnyumba ye, nasula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Wuriya ewuwe teyagendayo, yasula ku mulyango gwa lubiri wamu n'abaweereza bonna aba mukama we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Uliya n'asula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we, n'ataserengeta mu nnyumba ye.