2 Samuel 12:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Katonda n'atuma Natani ewa Dawudi. Bwe yajja gy'ali, n'amugamba nti: “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga omulala nga mwavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’atuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'agenda gy'ali n'amugamba nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga n'omulala nga mwavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'atuma Natani eri Dawudi. Natani n'agenda gy'ali n'amugamba nti: “Waaliwo abantu babiri mu kibuga ekimu. Omu yali mugagga, omulala nga mwavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'ajja gy'ali n'amugamba nti Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga ne munne nga mwavu.