2 Samuel 12:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo, ekitala si kya kuva mu nnyumba yo emirembe gyonna, kubanga onnyoomye, n'otwala muka Wuriya Omukitti abeere mukazi wo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wamutta n’ekitala eky’Abaana ba Amoni. Noolwekyo ekitala tekiriva mu nnyumba yo, kubanga onnyoomye n’otwala mukyala wa Uliya Omukiiti n’omufuula owuwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga nze onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno olutalo teruubulenga mu nnyumba yo ennaku zonna, kubanga onnyoomye, n'otwala muka Wuriya Omuhiiti okuba mukazi wo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.