2 Samuel 12:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kino ky'agamba Omukama: ‘Nzija kukusitulira akabi mu nnyumba yo. Bakazi bo nzija kubakuggyako ng'olaba bw'oti mbawe munno; alyebaka ne bakazi bo emisana ttuku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazi bo nga olaba ne mbawa muliraanwa wo, era alyebaka nabo emisana ttuku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: ‘Laba, ndireeta akabi mu nnyumba yo, ntwale bakazi bo ng'olaba, mbawe musajja munno yeebake nabo emisana ttuku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazibo mu maaso go ne mbawa muliiraanwa wo, era alisula ne bakazi bo mu maaso g'enjuba eno.