2 Samuel 12:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe wakola mu nkiso, nze ekyo nzija kukikola mu maaso ga Yisirayeli yenna emisana ttuku.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe wakikola mu kyama; naye nze ndikikola nga Abaisiraeri bonna balaba, emisana ttuku.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe wakikola mu kyama, naye nze ekyo ndikikola ng'Abayisirayeli bonna balaba, era ng'enjuba eyaka.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe wakikola mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maaso ga Isiraeri yenna ne mu maaso g'enjuba.