2 Samuel 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Natani nti: “Nyonoonye eri Omukama.” Natani n'agamba Dawudi nti: “N'Omukama aggyewo ekibi kyo; tojja kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n’addamu nti, “Kale, Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n'agamba Dawudi nti, “Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba Natani nti: “Nkoze ekibi ne nnyiiza Mukama.” Natani n'agamba Dawudi nti: “Mukama naye aggyeewo ekibi kyo, toofe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Nasani nti Nnyonoonye Mukama. Nasani n'agamba Dawudi nti Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe.