2 Samuel 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kubanga oleetedde abalabe b'Omukama okumuvuma olwa kino, omwana anaakuzaalirwa ajja kufa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’ekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba Mukama okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula nga bw'owadde abalabe ba Mukama omwagaanya omunene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa talirema kufa naye.