2 Samuel 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'awanjagira Omukama ku lw'omwana, n'asiiba, n'abeeranga mu nnyumba ye; yeebakanga ku ttaka ekiro kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne yeegayirira Katonda ku lw’omwana, n’asiiba, n’agenda mu nnyumba ye n’amala ekiro kyonna nga yeebase wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi kyeyava yeegayirira Katonda olwo mwana; Dawudi n'asiiba n'ayingira mu nnyumba, n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi kyeyava asabira omwana eri Katonda, Dawudi n'atabaako k'alya. N'ayingira mu nnyumba, n'amala ekiro kyonna ng'agalamidde wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi kyeyava amwegayiririra omwana eri Katonda; Dawudi n'asiiba n'ayingira n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde.