2 Samuel 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde mu nnyumba ye ne bajja awo we yali bamuwalirize ave ku ttaka, naye n'agaana, nga takkiriza na kulya nabo mmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakadde ab’ennyumba ye ne bagendanga gy’ali, okumuwaliriza asituke, alye ne ku mmere, naye n’agaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bajja, ne bayimirira w'ali, okumuyimusa okuva wansi, naye n'atakkiriza era n'agaana n'okulya nabo emmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu be ab'omu lubiri, ne bajja w'ali, bamuyimuse ave wansi, n'agaana era n'atakkiriza kulya nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bagolokoka (ne bayimirira) w'ali, okumuyimusa okuva wansi: naye n'atakkiriza so teyalya mmere nabo.