2 Samuel 12:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lwomusanvu omwana n'afa. Abaweereza ba Dawudi baatya okumubuulira omwana bw'afudde; anti baagamba nti: “Wuuno omwana bw'abadde akyali mulamu, twamugambanga nga tatuwuliriza. Kati tunaamugamba tutya nti: ‘Omwana afudde!’ Yandikola ekisinga obubi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu omwana n’afa. Naye abaddu ba Dawudi ne batya okumutegeeza nti omwana afudde, nga bagamba, nti, “Omwana bwe yali omulamu twagezaako okwogera naye, n’atatuwuliriza, olwo binaabeera bitya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde? Ayinza okutabukira ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde; kubanga baayogera nti, “Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe; kale anaabeera atya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaweereza ba Dawudi ne batya okumubuulira nti omwana afudde, kubanga baagamba nti: “Omwana ng'akyali mulamu Dawudi twayogera naye n'agaana okuwuliriza kye tumugamba, kale tunaamugamba tutya nti omwana afudde! Taanakuwale nnyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde: kubanga baayogera nti Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe: kale aneeraliikirira atya bwe tunaamubuulira omwana ng'afudde?