2 Samuel 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yalaba abaweereza be nga boogeraganya obwama, n'ategeera ng'omwana afudde; n'abuuza abaweereza be nti: “Omwana afudde?” Ne baanukula nti: “Afudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’alaba abaddu be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. N’ababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde; Dawudi n'abuuza nti, “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti, “ Afudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Dawudi bwe yalaba ng'abaweereza be boogera mu bwama, n'ategeera nti omwana afudde. Awo Dawudi n'ababuuza nti: “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti: “Afudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde: Dawudi n'agamba abaddu be nti Omwana afudde? Ne boogera nti Afudde.