2 Samuel 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ava ku ttaka, n'anaaba, n'asaaba omuzigo, n'akyusa ebyambalo, n'agenda mu nnyumba y'Omukama, n'asinza. Bwe yadda mu nnyumba ye, n'asaba akookulya, ne bamuteerayo emmere, n'alya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’ava wansi, n’anaabako, ne yeerongoosa, n’akyusa ebyambalo bye, n’alaga mu nnyumba ya Mukama n’asinza. Oluvannyuma n’addayo mu nnyumba ye, n’asaba emmere, n’alya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ava wansi n'anaaba n'asaaba amafuta, n'akyusa ebyambalo bye; n'agenda mu nnyumba ya Mukama n'asinza; n'alyoka addayo mu nnyumba ye; awo bwe yayagala okulya ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'ava wansi, n'anaaba, ne yeesiiga omuzigo, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'agenda mu Ssinzizo, n'asinza. Awo n'alyoka addayo mu nnyumba ye, n'asaba emmere, ne bagimuleetera n'alya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ava wansi n'agolokoka n'anaaba n'asaaba amafuta n'awaanyisa ebyambalo bye; n'ajja mu nnyumba ya Mukama n'asinza: n'alyoka ajja mu nnyumba ye; awo bwe yayagala ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya.