2 Samuel 12:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza be ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Omwana bwe yali akyali mulamu, wasiibanga n'okaaba olw'okubeera ye; omwana bw'afudde, osituse n'olya!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaweereza be ne bamugamba nti: “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana wo nga tannafa, naye omwana bw'afudde ogolokose n'olya emmere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu be ne bamugamba nti Kigambo ki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere.