2 Samuel 12:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addamu nti: “Omwana ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba olw'okubeera ye; anti nali ŋŋamba nti: ‘Ani amanyi, oboolyawo Omukama anansaasira omwana n'alama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'addamu nti, “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nnasiiba ne nkaaba; kubanga nnalowooza nti, ‘Ani amanyi oba olyawo Mukama anankwatirwa ekisa omwana n'awona.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abaddamu nti: “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba, kubanga nalowooza nti oboolyawo Mukama ayinza okunkwatirwa ekisa, omwana n'atafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba: kubanga nayogera nti Ani amanyi oba nga Mukama tankwatirwe kisa omwana abe omulamu.