2 Samuel 12:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati afudde, ate nsiibira ki? Nkyasobola okumukomyawo? Nze ndigenda gy'ali, naye ye tagenda kudda gye ndi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano afudde, kiki ekinsiibya? Nkyayinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy’ali, naye ye talikomawo gye ndi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano ng'amaze okufa nnandisiibidde ki? Nnyinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy'ali naye ye takyadda gye ndi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano ng'amaze okufa, kiki ekinsiibya? Nkyasobola okumuzza? Nze ndigenda gy'ali, wabula ye takyadda gye ndi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano ng'amaze okufa, nandisiibidde ki? nnyinza okumukomyawo? nze ndigenda gy'ali naye ye talikomawo gye ndi.